1
Makko 2:17
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Awo Yesu bwe yawulira n'abagamba nti Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde: sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.
Compare
Explore Makko 2:17
2
Makko 2:5
Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe n'agamba akoozimbye nti Mwana wange, ebibi byo bikuggiddwako.
Explore Makko 2:5
3
Makko 2:27
N'abagamba nti Ssabbiiti yabaawo ku lwa muntu, so omuntu si ku lwa ssabbiiti
Explore Makko 2:27
4
Makko 2:4
Naye bwe baalemwa okumusemberera olw'ekibiina, ne babikkula waggulu ku nnyumba we yali: ne bawummulawo ekituli ne bamussiza ku kitanda akoozimbye kwe yali agalamidde.
Explore Makko 2:4
5
Makko 2:10-11
Naye mumanye nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi (n'agamba akoozimbye nti) Nkugamba, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.
Explore Makko 2:10-11
6
Makko 2:9
Ekyangu kiruwa, okugamba akoozimbye nti Ebibi byo bikuggiddwako; nantiki okugamba nti Golokoka, weetikke ekitanda kyo, ogende?
Explore Makko 2:9
7
Makko 2:12
N'agolokoka, ne yeetikka amangu ago ekitanda, n'afuluma mu maaso gaabwe bonna; awo ne beewuunya bonna ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti Tetulabangako bwe tuti.
Explore Makko 2:12