1
Makko 1:35
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Awo mu makya ennyo, nga bukyali kiro, n'agolokoka n'afuluma, n'agenda mu ddungu, n'asabira eyo.
Compare
Explore Makko 1:35
2
Makko 1:15
ng'agamba nti ekiseera kituuse, obwakabaka bwa Katonda busembedde, mwenenye, mukkirize enjiri.
Explore Makko 1:15
3
Makko 1:10-11
Amangu ago bwe yava mu mazzi, n'alaba eggulu nga liyulise, n'Omwoyo ng'ali ng'ejjiba ng'akka ku ye: n'eddoboozi ne lifuluma mu ggulu erigamba nti Ggwe Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.
Explore Makko 1:10-11
4
Makko 1:8
Nze nabatiza n'amazzi, naye oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu.
Explore Makko 1:8
5
Makko 1:17-18
Yesu n'abagamba nti Mujje muyite nange, ndibafuula abavubi b'abantu. Amangu ago ne baleka awo emigonjo ne bagenda naye.
Explore Makko 1:17-18
6
Makko 1:22
Ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe: kubanga yabayigiriza nga ye nnyini buyinza, so si ng'abawandiisi.
Explore Makko 1:22