Nasabira Yusufu omukisa n'ayogera nti Katonda wa bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka gwe baatambuliranga mu maaso ge, Katonda eyandiisanga ennaku zange zonna okutuusa leero, malayika eyannunula mu bubi bwonna, awe omukisa abalenzi; n'erinnya lyange lituumibwenga ku bo, n'erinnya lya bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka; era bafuuke ekibiina ekinene wakati mu nsi.