Falaawo n'agamba Yusufu nti Kitaawo ne baganda bo bazze ewuwo: ensi y'e Misiri eri mu maaso go; awasinga obulungi mu nsi tuuza awo kitaawo ne baganda bo; batuule mu nsi y'e Goseni: era oba nga omanyi ku bo ab'amagezi, kale bafuule abakulu b'ente zange.