N'obuyinza bwe buliba bungi, naye si lwa buyinza bwe ye: era alizikiriza kitalo, era aliraba omukisa, era alikola by'alyagala: era alizikiriza ab'amaanyi n'abantu abatukuvu. Era olw'amagezi ge alyeza enkwe mu mukono gwe: era alyegulumiza mu mutima gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nga mirembe: era aliyimirira okulwanyisa omulangira w'abalangira: naye alimenyeka awatali ngalo.