1
Abakkolosaayi 2:6-7
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga bwe mutyo mu ye, nga mulina emmizi, era nga muzimbibwa mu ye, era nga munywezebwa okukkiriza kwammwe, nga bwe mwayigirizibwa, nga musukkirira okwebaza.
Compare
Explore Abakkolosaayi 2:6-7
2
Abakkolosaayi 2:8
Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, okugobereranga ebyayigirizibwa abantu, okugobereranga eby'olubereberye eby'ensi, okutali kugoberera Kristo
Explore Abakkolosaayi 2:8
3
Abakkolosaayi 2:13-14
Nammwe bwe mwali nga mufudde olw'ebyonoono byammwe n'obutakomolebwa mubiri gwammwe, yabafuula balamu wamu naye, bwe yamala okutusonyiwa ebyonoono byaffe byonna; n'okusangula endagaano eyawandiikibwa mu mateeka, eyatwolekera, eyali omulabe waffe: nayo n'agiggyamu wakati mu kkubo, bwe yagikomerera ku musalaba
Explore Abakkolosaayi 2:13-14
4
Abakkolosaayi 2:9-10
kubanga mu oyo mwe mutuula okutuukirira kwonna okw'Obwakatonda ng'omubiri bwe guli, era mwatuukiririra mu ye, gwe mutwe ogw'okufuga n'obuyinza bwonna
Explore Abakkolosaayi 2:9-10
5
Abakkolosaayi 2:16-17
Kale omuntu yenna tabanenyanga mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti: ebyo ky'ekisiikirize ky'ebyo ebigenda okujja; naye omubiri gwe gwa Kristo.
Explore Abakkolosaayi 2:16-17