Eri kyeyava agamba Samwiri nti Genda ogalamire: awo olunaatuuka, bw'anaaba ng'akuyise, n'oyogera nti Yogera, Mukama wange; kubanga omuddu wo awulira. Awo Samwiri n'agenda n'agalamira mu kifo kye. Mukama n'ajja n'ayimirira n'ayita ng'olulala nti Samwiri, Samwiri. Awo Samwiri n'ayogera nti Yogera; kubanga omuddu wo awulira.