1
Makko 2:17
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Yesu bwe yakiwulira n’abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde! Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”
Compare
Explore Makko 2:17
2
Makko 2:5
Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omulwadde eyali akoozimbye nti, “Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
Explore Makko 2:5
3
Makko 2:27
N’abagamba nti, “Ssabbiiti yateekebwawo lwa muntu, so si omuntu ku lwa Ssabbiiti.
Explore Makko 2:27
4
Makko 2:4
Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olw’ekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ng’ali ku katanda ke.
Explore Makko 2:4
5
Makko 2:10-11
Naye mmwe okusobola okutegeera ng’Omwana w’Omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” n’agamba eyali akoozimbye nti, “Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo.”
Explore Makko 2:10-11
6
Makko 2:9
Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule?
Explore Makko 2:9
7
Makko 2:12
Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”
Explore Makko 2:12