1
Ebyabaleevi 10:1
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Awo olwatuuka, batabani ba Alooni, Nadabu ne Abiku ne beetwalira buli omu ekyoterezo kye, ne bateekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bawaayo eri MUKAMA Katonda omuliro ogutali mutukuvu, ne basobya ekiragiro kye.
Compare
Explore Ebyabaleevi 10:1
2
Ebyabaleevi 10:3
Awo Musa n’agamba Alooni nti, Kino MUKAMA Katonda kye yayogerako bwe yagamba nti, “ ‘Nzija kweyolekanga nga bwe ndi omutukuvu eri abo abansemberera, era nassibwangamu ekitiibwa abantu bonna.’ ” Alooni n’asirika busirisi.
Explore Ebyabaleevi 10:3
3
Ebyabaleevi 10:2
Omuliro ne guva eri MUKAMA ne gubookya, ne bafiira awo mu maaso ga MUKAMA Katonda.
Explore Ebyabaleevi 10:2