1
Abaggalatiya 6:9
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi.
Compare
Explore Abaggalatiya 6:9
2
Abaggalatiya 6:10
Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala ab’omu nnyumba ey’okukkiriza.
Explore Abaggalatiya 6:10
3
Abaggalatiya 6:2
Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo.
Explore Abaggalatiya 6:2
4
Abaggalatiya 6:7
Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu ky’asiga era ky’alikungula.
Explore Abaggalatiya 6:7
5
Abaggalatiya 6:8
Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo.
Explore Abaggalatiya 6:8
6
Abaggalatiya 6:1
Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.
Explore Abaggalatiya 6:1
7
Abaggalatiya 6:3-5
Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bw’ali, yeerimbarimba. Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala. Kubanga buli muntu aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe.
Explore Abaggalatiya 6:3-5