Abaggalatiya 6:3-5
Abaggalatiya 6:3-5 EEEE
Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bw’ali, yeerimbarimba. Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala. Kubanga buli muntu aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe.





