1
1 Yokaana 5:14
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira.
Compare
Explore 1 Yokaana 5:14
2
1 Yokaana 5:15
Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.
Explore 1 Yokaana 5:15
3
1 Yokaana 5:3-4
Kubanga okwagala kwa Katonda kwe kukola ebyo by’atulagira okukola. Okukola by’atulagira si kizibu, kubanga buli mwana wa Katonda awangula ekibi n’okwegomba ensi, era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe.
Explore 1 Yokaana 5:3-4
4
1 Yokaana 5:12
Buli alina Omwana alina obulamu, naye oyo atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.
Explore 1 Yokaana 5:12
5
1 Yokaana 5:13
Ebyo mbiwandiikidde mmwe abakkiriza erinnya ly’Omwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti mulina obulamu obutaggwaawo.
Explore 1 Yokaana 5:13
6
1 Yokaana 5:18
Tumanyi nga buli muntu yenna azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi, kubanga Katonda amukuuma, Setaani n’atamukola kabi.
Explore 1 Yokaana 5:18