1
1 Yokaana 3:18
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.
Compare
Explore 1 Yokaana 3:18
2
1 Yokaana 3:16
Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda.
Explore 1 Yokaana 3:16
3
1 Yokaana 3:1
Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.
Explore 1 Yokaana 3:1
4
1 Yokaana 3:8
naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani.
Explore 1 Yokaana 3:8
5
1 Yokaana 3:9
Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.
Explore 1 Yokaana 3:9
6
1 Yokaana 3:17
Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye?
Explore 1 Yokaana 3:17
7
1 Yokaana 3:24
Kale oyo agondera ebiragiro bye abeera mu Ye, era naye abeera mu ye. Kino tukimanyi ng’ali mu ffe, kubanga Mwoyo Mutukuvu gwe yatuwa abeera mu ffe.
Explore 1 Yokaana 3:24
8
1 Yokaana 3:10
Ku kino abaana ba Katonda n’aba Setaani kwe bategeererwa. Buli akola ebitali bya butuukirivu si wa Katonda, era na buli atayagala muganda we si wa Katonda.
Explore 1 Yokaana 3:10
9
1 Yokaana 3:11
Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga
Explore 1 Yokaana 3:11
10
1 Yokaana 3:13
Abooluganda, ensi bwe bakyawanga, temwewuunyanga.
Explore 1 Yokaana 3:13