1
1 Yokaana 2:15-16
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Temwagalanga nsi, wadde eby’ensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe. Kubanga buli eky’ensi: okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwekuluntaza okw’obulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi.
Compare
Explore 1 Yokaana 2:15-16
2
1 Yokaana 2:17
Ensi n’okwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe gyonna.
Explore 1 Yokaana 2:17
3
1 Yokaana 2:6
Oyo agamba nti ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.
Explore 1 Yokaana 2:6
4
1 Yokaana 2:1
Baana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bw’akolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu.
Explore 1 Yokaana 2:1
5
1 Yokaana 2:4
Kyokka oyo agamba nti amutegeera n’atakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima.
Explore 1 Yokaana 2:4
6
1 Yokaana 2:3
Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera.
Explore 1 Yokaana 2:3
7
1 Yokaana 2:9
Omuntu agamba nti atambulira mu musana, kyokka ate n’akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza.
Explore 1 Yokaana 2:9
8
1 Yokaana 2:22
Omulimba y’ani, wabula oyo agamba nti Yesu si ye Kristo. Omuntu oyo yennyini ye Mulabe wa Kristo, era oyo takkiririza Kitaffe wadde Omwana.
Explore 1 Yokaana 2:22
9
1 Yokaana 2:23
Kubanga buli atakkiriza Mwana era ne Kitaffe tamukkiriza. Buli ayatula Omwana aba alina ne Kitaffe.
Explore 1 Yokaana 2:23