Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi ne ku abo abali mu Yerusaalemi omwoyo ogw'ekisa n'ogw'okwegayirira; era balitunuulira nze gwe baafumita, era balimukubira ebiwoobe ng'omuntu bw'akubira ebiwoobe omwana we omu yekka, era balimulumirwa omwoyo ng'omuntu bw'alumirwa omwana we omubereberye.