1
Abaruumi 14:17-18
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
kubanga obwakabaka bwa Katonda si kwe kulya n'okunywa, wabula butuukirivu na mirembe na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu. Kubanga aweereza Kristo bw'ati asanyusa nnyo Katonda, n'abantu bamusiima.
Compare
Explore Abaruumi 14:17-18
2
Abaruumi 14:8
Kubanga bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama waffe; oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama waffe, kale, bwe tuba abalamu, oba bwe tufa, tuba ba Mukama waffe.
Explore Abaruumi 14:8
3
Abaruumi 14:19
Kale bwe kityo tugobererenga eby'emirembe, n'eby'okuzimbagananga fekka na fekka.
Explore Abaruumi 14:19
4
Abaruumi 14:13
Kale tulemenga okusalira bannaffe emisango nate fekka na fekka, naye waakiri musale omusango guno, obutaleeteranga wa luganda ekyesittaza oba enkonge.
Explore Abaruumi 14:13
5
Abaruumi 14:11-12
Kubanga kyawandiikibwa nti, “Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, buli vviivi lirinfukaamirira, Na buli lulimi lulitendereza Katonda.” Kale bwe kityo buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda.
Explore Abaruumi 14:11-12
6
Abaruumi 14:1
Naye atali munywevu mu kukkiriza mumusembezenga, naye temumusalira musango olw'ensonga ezibuusibwabuusibwa.
Explore Abaruumi 14:1
7
Abaruumi 14:4
Ggwe ani asalira omusango omuweereza wa beene? Eri mukama we yokka gyayinza okuyimiririra oba okugwa. Naye aliyimirira; kubanga Mukama waffe ayinza okumuyimiriza.
Explore Abaruumi 14:4
Home
Bible
Plans
Videos