1
Engero 22:6
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.
Compare
Explore Engero 22:6
2
Engero 22:4
Obugagga n'ekitiibwa n'obulamu Ye mpeera ey'okwetoowazanga n'okutyanga Mukama.
Explore Engero 22:4
3
Engero 22:1
Okulondawo erinnya eddungi, kusinga bugagga obungi. Okuganja n'okwagalibwa kusinga okuba ne ffeeza ne zaabu.
Explore Engero 22:1
4
Engero 22:24
Tokwananga muntu wa busungu: Togendanga na muntu ow'ekiruyi
Explore Engero 22:24
5
Engero 22:9
Alina eriiso erigabaagaba anaabanga n'omukisa; Kubanga awa omwavu ku mmere ye.
Explore Engero 22:9
6
Engero 22:3
Omuntu omutegeevu alaba akabi nga kajja, n'akeewala; Naye abatalina magezi bagenda bugenzi ne bakagwamu.
Explore Engero 22:3
7
Engero 22:7
Omugagga afuga abaavu, N'eyeewola aba muddu w'awola.
Explore Engero 22:7
8
Engero 22:2
Omugagga n'omwavu balina ekibagatta, Ye Mukama, bonna eyabatonda.
Explore Engero 22:2
9
Engero 22:22-23
Tonyaganga mwavu kubanga mwavu, Era tonyigirizanga mwavu awasalirwa omusango. Kubanga Mukama ye aliwoza ensonga yaabwe, Era abo ababanyaga alibanyagako obulamu.
Explore Engero 22:22-23