1
Engero 15:1
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Okuddamu n'eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi; Naye ekigambo eky'ekkayu kisaanuula obusungu.
Compare
Explore Engero 15:1
2
Engero 15:33
Okutya Mukama, kuyigiriza omuntu amagezi; Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.
Explore Engero 15:33
3
Engero 15:4
Okwogera eby'ekisa, kuleeta obulamu; Naye ebigambo eby'obukambwe, bikosa omutima.
Explore Engero 15:4
4
Engero 15:22
Awatali kuwabulwa, okuteesa kufa; Naye awali abawabuzi abangi, ebiteesebwa birama.
Explore Engero 15:22
5
Engero 15:13
Asanyuka mu mutima, ne ku maaso amwenya; Naye obuyinike obw'omutima bwennyamiza omuntu.
Explore Engero 15:13
6
Engero 15:3
Amaaso ga Mukama gaba mu buli kifo, Nga galabirira ababi n'abalungi.
Explore Engero 15:3
7
Engero 15:16
Akatono akaliko okutya Mukama Kasinga obugagga obungi obuliko obuyinike.
Explore Engero 15:16
8
Engero 15:18
Omuntu ow'obusungu asaanuula oluyombo: Naye alwawo okusunguwala akkakkanya empaka.
Explore Engero 15:18
9
Engero 15:28
Omuntu omutuukirivu, amala kulowooza nga tanaba kwanukula; Naye omubi ayogera ebitasaana.
Explore Engero 15:28