Awo bwe yali akyayogera, abaava mu maka ga Yayiro ne bajja, ne bagamba Yayiro nti, “Omuwala wo afudde. Oteganyiza ki nate Omuyigiriza?” Naye Yesu n'atassaako mwoyo ku bigambo ebyogeddwa wabula n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti, “Totya, kkiriza bukkiriza.”