1
Makko 4:39-40
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, n'agamba ennyanja nti, “Sirika, teeka.” Omuyaga ne gukkakkana, n'eba nteefu nnyo. N'abagamba nti, “Kiki ekibatiisa? Temunnaba kuba na kukkiriza?”
Compare
Explore Makko 4:39-40
2
Makko 4:41
Ne batya nnyo, ne bagambagana nti, “Kale ono ye ani, omuyaga n'ennyanja gwe bigondera?”
Explore Makko 4:41
3
Makko 4:38
Yesu ye yali mabega mu lyato nga yeebase ku mutto, ne bamuzuukusa, ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tofaayo nga tufa?”
Explore Makko 4:38
4
Makko 4:24
N'abagamba nti, “Mwekuume kye muwulira: mu kigera mwe mugera nammwe mwe muligererwa: era mulyongerwako.
Explore Makko 4:24
5
Makko 4:26-27
N'agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda buli ng'omuntu bw'amansa ensigo ku ttaka; ne yeebaka n'agolokoka ekiro n'emisana, n'ensigo n'emeruka n'ekula, ye nga tamanyi bw'emeruse.
Explore Makko 4:26-27
6
Makko 4:23
Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
Explore Makko 4:23
Home
Bible
Plans
Videos