1
Makko 2:17
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Awo Yesu bwe yakiwulira n'abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”
Compare
Explore Makko 2:17
2
Makko 2:5
Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe n'agamba akoozimbye nti, “Mwana wange, ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
Explore Makko 2:5
3
Makko 2:27
N'abagamba nti, “Ssabbiiti yabaawo ku lwa muntu, so omuntu si ku lwa ssabbiiti.
Explore Makko 2:27
4
Makko 2:4
Naye bwe baalemwa okumuyingiza olw'ekibiina, ne babikkula waggulu ku nnyumba we yali; ne bawummulawo ekituli ne bassa ekitanda akoozimbye kwe yali agalamidde.
Explore Makko 2:4
5
Makko 2:10-11
Naye mumanye nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi,” n'agamba eyali akoozimbye nti, “Nkugamba, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.”
Explore Makko 2:10-11
6
Makko 2:9
Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti, Ebibi byo bikusonyiyiddwa oba okugamba nti, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule?
Explore Makko 2:9
7
Makko 2:12
N'agolokoka, amangwago ne yeetikka ekitanda kye, n'afuluma nga bonna balaba. Awo bonna ne beewuunya ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti, “Tetulabangako kintu bwe kiti.”
Explore Makko 2:12
Home
Bible
Plans
Videos