Singa eriiso lyo erya ddyo likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala; kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gulisuulibwa mu muliro gwa Ggeyeena. Era singa omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko, ogusuule wala; kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gulisuulibwa mu muliro gwa Ggeyeena.”