1
Matayo 21:22
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Ne byonna byonna bye munaayagalanga, bwe munaasabanga nga mukkirizza, munaabiweebwanga.”
Compare
Explore Matayo 21:22
2
Matayo 21:21
Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti Bwe munaabanga n'okukkiriza, nga temubuusabuusa, temuukolenga kino kyokka eky'omutiini, naye bwe muligamba olusozi luno nti Situlibwa osuulibwe mu nnyanja, kirikolebwa.
Explore Matayo 21:21
3
Matayo 21:9
Ebibiina ebyamukulembera, n'ebyo ebyava emabega, ne byogerera waggulu, ne bigamba nti, “Ozaana eri omwana wa Dawudi! Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama! Ozaana waggulu mu ggulu!”
Explore Matayo 21:9
4
Matayo 21:13
n'abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu;’ naye mmwe mugifuula mpuku ya banyazi.”
Explore Matayo 21:13
5
Matayo 21:5
“Mubuulire muwala wa Sayuuni nti, Laba, Kabaka wo ajja gy'oli. Omuteefu, nga yeebagadde endogoyi, Era yeebagadde n'akayana omwana gw'endogoyi.”
Explore Matayo 21:5
6
Matayo 21:42
Yesu n'abagamba nti, “Temusomangako mu byawandiikibwa nti,” “‘Ejjinja abazimbi lye baagaana’” “ ‘Lye lyafuuka omutwe gw'ensonda;’” “‘Kino kyava eri Mukama,’” “‘Era kya kitalo mu maaso gaffe?’”
Explore Matayo 21:42
7
Matayo 21:43
“Kyenva mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibaggibwako mmwe, buliweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo.”
Explore Matayo 21:43
Home
Bible
Plans
Videos