1
Matayo 19:26
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Yesu n'abatunuulira n'abagamba nti, “Mu bantu ekyo tekiyinzika; naye Katonda ayinza byonna.”
Compare
Explore Matayo 19:26
2
Matayo 19:6
Olwo nga tebakyali babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawukanyanga.”
Explore Matayo 19:6
3
Matayo 19:4-5
Yesu n'abaddamu nti, “Temusomangako nti oyo eyabatonda olubereberye nga yatonda omusajja n'omukazi, n'agamba nti, ‘Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu?’
Explore Matayo 19:4-5
4
Matayo 19:14
Naye Yesu n'agamba nti, “Mubaleke abaana abato, temubagaana kujja gye ndi; kubanga abali ng'abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.”
Explore Matayo 19:14
5
Matayo 19:30
Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.”
Explore Matayo 19:30
6
Matayo 19:29
Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw'erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi (100), era alisikira n'obulamu obutaggwaawo.
Explore Matayo 19:29
7
Matayo 19:21
Yesu n'amugamba nti, “Bw'oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebibyo byonna, ogabire abaavu, oliba n'obugagga mu ggulu, olyoke ojje, ongoberere.”
Explore Matayo 19:21
8
Matayo 19:17
Yesu n'amuddamu nti, “Kiki ekikumbuuzisa eby'ekigambo ekirungi? Omulungi ali Omu, naye bw'oyagala okuyingira mu bulamu, wuliranga amateeka.”
Explore Matayo 19:17
9
Matayo 19:24
Era nate mbagamba nti Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
Explore Matayo 19:24
10
Matayo 19:9
Era mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we, wabula nga amulanga ogw'obwenzi, n'awasa omulala, ng'ayenze, n'oyo awasa eyagobebwa ng'ayenze.”
Explore Matayo 19:9
11
Matayo 19:23
Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Mazima mbagamba nti Kizibu omuntu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu.
Explore Matayo 19:23
Home
Bible
Plans
Videos