1
Yoswa 1:9
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Si nze nkulagidde? Ddamu amaanyi, guma omwoyo; totyanga, so teweekanganga; kubanga Mukama Katonda wo ali naawe buli gy'onoogendanga yonna.”
Compare
Explore Yoswa 1:9
2
Yoswa 1:8
Ekitabo kino eky'amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoolezangamu emisana n'ekiro, olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe biri ebikiwandiikiddwamu; kubanga bw'otyo bw'onooterezanga ekkubo lyo era bw'otyo bw'onooweebwanga omukisa.
Explore Yoswa 1:8
3
Yoswa 1:7
Naye mala okuddamu amaanyi, n'okuguma ennyo omwoyo, weekuumenga okole ng'amateeka gonna bwe gali, Musa, omuweereza wange, ge yakulagira. Togaviirangako ddala n'akatono, olyoke oweebwenga omukisa buli gy'onoogendanga yonna.
Explore Yoswa 1:7
4
Yoswa 1:5
Tewalibeera muntu yenna aliyimirira mu maaso go ennaku zonna ez'obulamu bwo; nga bwe nnabeeranga ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe; siikwabulirenga so siikulekenga.
Explore Yoswa 1:5
5
Yoswa 1:6
Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olisobozesa abantu bano okusikira ensi eno gye nnalayirira okuwa bajjajjaabwe.
Explore Yoswa 1:6
6
Yoswa 1:3
Buli kifo kye mulirinnyamu ekigere kyammwe, nkibawadde mmwe, nga bwe nnasuubiza Musa.
Explore Yoswa 1:3
7
Yoswa 1:2
“Musa, omuweereza wange, afudde; kale kaakano golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe n'abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri.
Explore Yoswa 1:2
8
Yoswa 1:1
Awo olwatuuka Musa omuweereza wa Mukama, bwe yamala okufa, Mukama n'agamba Yoswa, omwana wa Nuuni, omuweereza wa Musa, ng'ayogera nti
Explore Yoswa 1:1
9
Yoswa 1:4
Okuva mu ddungu n'olusozi luno Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene Fulaati, ensi yonna ey'Abakiiti, era n'okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba, we waliba esalo yammwe.
Explore Yoswa 1:4
10
Yoswa 1:18
Buli muntu yenna anaajeemeranga ekiragiro kyo, era ataawulirenga bigambo byo mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga; naye ddamu amaanyi, guma omwoyo.”
Explore Yoswa 1:18
11
Yoswa 1:11
“Muyite wakati mu lusiisira, mulagire abantu nti, ‘Mwetegekere emmere; kubanga mu nnaku ssatu mugenda kusomoka omugga guno Yoludaani, okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okubeeramu.’ ”
Explore Yoswa 1:11