Ndibawa omutima gumu n'ekkubo limu, bantyenga ennaku zonna; balyoke babenga bulungi bo n'abaana baabwe abaliddawo. Ndiragaana nabo endagaano eteriggwaawo, nga siriddayo kukyuka kuleka kubakola bulungi; era nditeeka entiisa yange mu mitima gyabwe baleme okunvaako.