Awo nnabbi Yeremiya n'alyoka agamba nnabbi Kananiya nti, “Wulira nno, Kananiya; Mukama takutumanga; naye oleetera abantu bano okwesiga eby'obulimba. N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Laba, nja kukuggya mu nsi, mu mwaka guno mw'olifiira kubanga oyogedde eby'obujeemu eri Mukama.’ ”