1
Yeremiya 29:11
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Kubanga mmanyi ebirowoozo bye ndowooza gye muli, bw'ayogera Mukama, ebirowoozo eby'emirembe so si bya bubi, okubawa eby'omu maaso ne suubi.
Compare
Explore Yeremiya 29:11
2
Yeremiya 29:13
Era mulinnoonya ne mundaba, bwe mulinkenneenya n'omutima gwammwe gwonna.
Explore Yeremiya 29:13
3
Yeremiya 29:12
Olwo mulinkoowoola, nange ne nzijja; mulinsaba, nange ndibawulira.
Explore Yeremiya 29:12
4
Yeremiya 29:14
Nange mulindaba, bw'ayogera Mukama, era ndizaawo emikisa gyammwe, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga gonna ne mu bifo byonna gye nnabagobera, era ndibakomyawo mu nsi mwe nnabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse.”
Explore Yeremiya 29:14
5
Yeremiya 29:10
“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Emyaka nsanvu (70) gye nawa Babbulooni bwe giriggwaako, ndibakyalira, era ndituukiriza ekisuubizo kyange, ne mbakomyawo mu kifo kino.
Explore Yeremiya 29:10