“Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndirosa eri Dawudi Ettabi ettuukirivu, era alifuga nga ye kabaka, era alikola eby'amagezi, era alisala emisango n'obwenkanya n'obutuukirivu mu nsi. Mu mirembe gye Yuda alirokoka ne Isiraeri alibeera mu mirembe. Era lino lye linnya lye ly'alituumibwa nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe.”