Yeremiya 23:3-4
Yeremiya 23:3-4 LBR
Era ndikuŋŋaanya abafisseewo ku kisibo kyange okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera, ne mbakomyawo mu bisibo byabwe; era balyala ne beeyongera. Era ndissaawo abasumba ku bo abalibaliisa, kale nga tebakyabatya nate so tebalikeŋŋentererwa, so tewaliba n'omu alibula,” bw'ayogera Mukama.





