1
Isaaya 6:8
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Ne mpulira eddoboozi lya Mukama, ng'agamba nti, “Naatuma ani, Ani anaagenda ku lwaffe?” Nze ne nziramu nti, “Nze, nzuuno: tuma nze.”
Compare
Explore Isaaya 6:8
2
Isaaya 6:3
Omu n'ayogerera waggulu n'agamba munne nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama ow'eggye: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
Explore Isaaya 6:3
3
Isaaya 6:5
Ne ndyoka njogera nti, “Zinsanze! nfudde nze, kubanga ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, era ntuula wakati mu bantu aboogera ebitali birongoofu. Naye ate nzuuno kaakano amaaso gange galabye Kabaka, Mukama ow'eggye.”
Explore Isaaya 6:5
4
Isaaya 6:1
Mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira nnalaba Mukama ng'atudde ku ntebe, empanvu era engulumivu, n'ekirenge ky'ekyambalo kye nga kijjuzizza Yeekaalu.
Explore Isaaya 6:1
5
Isaaya 6:7
n'alikomya ku mimwa gyange n'agamba nti, “Laba, lino likomye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo buggiddwawo, n'ekibi kyo kisonyiyiddwa.”
Explore Isaaya 6:7
6
Isaaya 6:2
Basseraafi baali bayimiridde waggulu we: buli omu ng'alina ebiwaawaatiro mukaaga; ebibiri nga bibisse ku maaso ge, n'ebibiri nga bibisse ku bigere bye, n'ebibiri nga bye yeeyambisa okubuuka.
Explore Isaaya 6:2
7
Isaaya 6:6
Awo omu ku basseraafi n'alyoka abuuka n'ajja gye ndi, ng'alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto ne nnamagalo
Explore Isaaya 6:6
8
Isaaya 6:9
N'aŋŋamba nti, “Genda obuulire abantu abo nti, ‘Okuwulira muwulira naye temutegeera; okulaba mulaba, naye temwetegereza.
Explore Isaaya 6:9
9
Isaaya 6:10
Savuwaza omutima gw'abantu bano, era ggala amatu gaabwe, era ziba amaaso gaabwe; baleme okulaba n'amaaso gaabwe, n'okuwulira n'amatu gaabwe, n'okutegeera n'omutima gwabwe, okukyuka, okuwonyezebwa.’ ”
Explore Isaaya 6:10