Oyo atambula n'obutuukirivu, era ayogera eby'amazima;
oyo anyooma amagoba agava mu kujooga,
akunkumula engalo ze obutakwata nguzi,
aziba amatu ge obutawulira musaayi,
era aziba amaaso ge obutatunuulira bubi;
oyo ye alituula waggulu;
ekifo kye eky'okwekuuma kiriba nkomera za mayinja;
emmere ye anaagiweebwanga; amazzi ge galiba ga nkalakkalira.