1
Olubereberye 45:5
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Ne kaakano temunakuwala, so temwesunguwalira, kubanga mwantunda muno; kubanga Katonda ye yankulembeza okubawonya mmwe mu kufa.
Compare
Explore Olubereberye 45:5
2
Olubereberye 45:8
Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda; era ye yanfuula nga kitaawe wa Falaawo, era omwami w'ennyumba ye yonna era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri.
Explore Olubereberye 45:8
3
Olubereberye 45:7
Era Katonda ye yankulembeza mmwe okubawonya ne bazzukulu bammwe, muleme okufa mu ngeri ey'ekitalo.
Explore Olubereberye 45:7
4
Olubereberye 45:4
Yusufu n'agamba baganda be nti, “Munsemberere, mbeegayiridde.” Ne basembera. N'ayogera nti, “Nze Yusufu, muganda wammwe, gwe mwatunda e Misiri.
Explore Olubereberye 45:4
5
Olubereberye 45:6
Enjala yaakamala mu nsi emyaka ebiri; ate ekyasigaddeyo etaano, gye batagenda kulimiramu newakubadde okukungula.
Explore Olubereberye 45:6
6
Olubereberye 45:3
Yusufu n'agamba baganda be nti, “Nze Yusufu; kitange akyali mulamu?” Baganda be ne batya nnyo, okulaba nga bayimiridde mu maaso ge, ne batayinza kumuddamu.
Explore Olubereberye 45:3
Home
Bible
Plans
Videos