N'omuwendo gw'amatoffaali, ge babumba bulijjo, gusigale nga bwe guli, temugukendeezaako n'akatono; kubanga bagayaavu; kyebaava basaba nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’ Abantu baweebwe emirimu emikakali bagikole; baleme okuwuliriza ebigambo eby'obulimba.”