1
Ebikolwa by'Abatume 4:12
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.”
Compare
Explore Ebikolwa by'Abatume 4:12
2
Ebikolwa by'Abatume 4:31
Bwe baamala okusaba, mu kifo we baakuŋŋaanira ne wakankana; bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne boogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.
Explore Ebikolwa by'Abatume 4:31
3
Ebikolwa by'Abatume 4:29
Kale kaakano, Mukama, laba okukanga kwabwe, owe abaddu bo bagume nnyo okwogeranga ekigambo kyo
Explore Ebikolwa by'Abatume 4:29
4
Ebikolwa by'Abatume 4:11
Oyo lye jjinja eryanyoomebwa mmwe abazimbi, erifuuse ekkulu ery'oku nsonda.
Explore Ebikolwa by'Abatume 4:11
5
Ebikolwa by'Abatume 4:13
Awo bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n'okutegeera ne bategeera nga si bayigirize, bantu ba bulijjo, ne beewuunya, ne bategeera nga baali wamu ne Yesu.
Explore Ebikolwa by'Abatume 4:13
6
Ebikolwa by'Abatume 4:32
N'ekibiina kyabwe abakkiriza baalina omutima gumu n'emmeeme emu; so tewaali n'omu eyayogeranga nti ekintu kyalina kye kikye yekka, naye byonna baabanga nabyo mu bumu.
Explore Ebikolwa by'Abatume 4:32
Home
Bible
Plans
Videos