Nabo nga banyiikiranga bulijjo n'omwoyo gumu okukuŋŋaana mu Yeekaalu, ne bamenyanga emigaati mu nnyumba zaabwe, ne balyanga emmere n'essanyu n'omutima ogutalina bukuusa, nga batenderezanga Katonda, nga basiimibwanga abantu bonna. Mukama n'abongerangako bulijjo abaalokokanga.