Naye ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali basaba, era nga bwe bayimbira Katonda, nga n'abasibe abalala bawuliriza, amangwago ne wabaawo ekikankano kinene n'emisingi gy'ekkomera ne gikankana. Amangwago enzigi zonna ne zigguka; n'ebyali bibasibye bonna ne bisumulukuka.