Matayo 17
17
1 #
Mak 9:2-13, Luk 9:28-36 Ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n'abalinnyisa ku lusozi oluwanvu bokka: 2#2 Peet 1:16-18n'afuusibwa mu maaso gaabwe: amaaso ge ne gamasamasa ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omusana. 3Laba, Musa ne Eriya ne babalabikira nga boogera naye. 4Peetero n'addamu n'agamba Yesu nti Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano: bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu; emu yiyo, n'endala ya Musa, n'endala ya Eriya. 5#Mat 3:17; 16:16-17, Ma 18:15Bwe yali ng'akyayogera, laba, ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza: laba, eddoboozi ne liva mu kire, nga ligamba nti Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire. 6Abayigirizwa bwe baaliwulira, ne bagwa nga beevuunise, ne batya nnyo. 7Yesu n'ajja n'abakomako n'agamba nti Muyimuke, temutya. 8Ne bayimusa amaaso gaabwe, ne batalaba muntu, wabula Yesu yekka.
9 #
Mat 16:20
Bwe baali nga bakka ku lusozi, Yesu n'abalagira ng'agamba nti Temubuulirako muntu bye mwolesebbwa, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alimala okuzuukira mu bafu. 10#Mat 11:14, Mal 4:5Abayigirizwa be ne bamubuuza, ne bagamba nti Kale kiki ekigambya abawandiisi nti Eriya kimugwanidde okusooka okujja? 11N'addamu n'agamba nti Eriya ajja ddala, alirongoosa byonna: 12#Mat 14:9,10naye mbagamba nti Eriya amaze okujja, nabo tebaamumanya, naye baamukola bwe baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'omuntu alibonyaabonyezebwa bo. 13#Luk 1:17Awo abayigirizwa ne bategeera nti yayogera nabo ku Yokaana Omubatiza.
14 #
Mat 9:14-29, Luk 9:37-42 Bwe baatuuka eri ekibiina, omuntu n'ajja gy'ali, n'amufukaamirira, ng'agamba nti 15Mukama wange, musaasire omwana wange: kubanga agwa ensimbu, zimubonyaabonya nnyo: kubanga emirundi mingi ng'agwa mu muliro, era emirundi mingi mu mazzi. 16Ne mmuleetera abayigirizwa bo, ne batayinza kumuwonya. 17#Ma 32:5, Yok 14:9Yesu n'addamu n'agamba nti Mmwe ab'emirembe egitakkiriza emikyamu, ndituusa wa okubeera nammwe? ndituusa wa okubagumiikiriza? mumundeetere wano. 18Yesu n'amuboggolera; dayimooni n'amuvaako: omulenzi n'awona okuva mu kiseera ekyo. 19#Mat 10:1Awo abayigirizwa ne bajja eri Yesu kyama, ne bagamba nti Kiki ekitulobedde ffe okuyinza okumugoba? 20#Mat 21:21, Luk 17:6, Mak 11:23N'abagamba nti Olw'okukkiriza kwammwe okuba okutono: kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; so singa tewali kigambo kye mutayinza. 21Naye kyokka eky'engeri eno tekiyinza kuvaawo awatali kusaba na kusiiba.
22 #
Mat 16:21
#
Mak 9:30-32, Luk 9:43-45 Bwe baali nga bakyatudde e Ggaliraaya, Yesu n'abagamba nti Omwana w'omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu; 23balimutta, ne ku lunaku olw'okusatu alizuukizibwa. Ne banakuwala nnyo.
24 #
Kuv 30:13
Bwe baatuuka e Kaperunawumu, abantu abasolooza ediderakima ne bajja eri Peetero, ne bagamba nti Mukama wammwe tawa diderakima? 25N'agamba nti Awa. Bwe yayingira mu nju, Yesu n'amwesooka ng'agamba nti Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi bawooza oba basolooza bantu ki? baana baabwe nantiki bannaggwanga? 26N'agamba nti Bannaggwanga. Yesu n'amugamba nti Kale abaana ba ddembe. 27Naye, tuleme okubasittaza, genda ku nnyanja, osuule eddobo, onnyulule ekyennyanja ekinaasooka okubbulukuka; bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoolabamu esutateri: otwale eyo, ogibawe ku bwange ne ku bubwo.
Obecnie wybrane:
Matayo 17: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.