Matayo 16

16
1 # Mak 8:11-21, Mat 12:38 Abafalisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja, ne bamukema ne bamusaba okubalaga akabonero akava mu ggulu. 2#Luk 12:54-56Naye n'addamu n'abagamba nti [Bwe buba akawungeezi, mugamba nti Bunaaba bulungi: kubanga eggulu limyuse. 3#Mat 11:4N'enkya nti Wanaaba omuyaga leero: kubanga eggulu limyuse libindabinda. Mumanyi okwawula eggulu bwe lifaanana; naye temuyinza kwawula bubonero bwa biro?] 4#Yon 1:17, Mat 12:39,40Ab'emirembe emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; so tebaliweebwa kabonero, wabula akabonero ka Yona. N'abaleka, n'agenda.
5Abayigirizwa ne bajja emitala w'eri, ne beerabira okutwala emigaati. 6#Luk 12:1Yesu n'abagamba nti Mutunuulire mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo. 7Ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti Kubanga tetuleese migaati. 8#Mat 6:30Yesu n'amanya n'agamba nti Mmwe abalina okukkiriza okutono, kiki ekibawakanya mwekka na mwekka kubanga temulina migaati? 9#Mat 14:17-21Temunnaba kutegeera, so temujjukira migaati etaano eri abo enkumi ettaano, n'ebibbo bwe byali bye mwakuŋŋaanya? 10#Mat 15:34-38Era emigaati omusanvu eri abo enkumi ennya, n'ebisero bwe byali bye mwakuŋŋaanya? 11Ekibalobedde ki okutegeera nti sibagambiridde lwa migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo. 12#Yok 6:27Ne balyoka bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula okuyigiriza kw'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.
13 # Mak 8:27-30, Luk 9:18-21 Awo, Yesu bwe yajja ku njuyi z'e Kayisaliya ekya Firipo, n'abuuza abayigirizwa be, ng'agamba nti Omwana w'omuntu abantu bamuyita batya? 14#Mat 14:2; 17:10Ne bagamba nti Abalala bamuyita Yokaana Omubatiza; abalala nti Eriya: abalala nti Yeremiya, oba omu ku bannabbi. 15N'abagamba nti Naye mmwe mumpita mutya? 16#Yok 6:69Simooni Peetero n'addamu n'agamba nti Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu. 17#Bag 1:15,16, Mat 17:4,5Yesu n'addamu n'amugamba nti Olina omukisa, Simooni Ba-Yona: kubanga omubiri n'omusaayi tebyakubikkulira ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu. 18#Yok 1:42, Bef 2:20Nange nkugamba nti Ggwe Peetero, nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno: so n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza. 19#Mat 18:18Ndikuwa ebisumuluzo by'okwakabaka obw'omu ggulu: kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi kirisibibwa mu ggulu: kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi kirisumululibwa mu ggulu. 20#Mat 17:9Awo n'akuutira abayigirizwa baleme okubuulirako omuntu nti ye Kristo.
21 # Mat 12:40, Yok 2:19 Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, ne ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa. 22Peetero n'amutwala, n'atanula okumunenya, ng'agamba nti Nedda, Mukama wange: ekyo tekirikubaako n'akatono. 23N'akyuka, n'agamba Peetero nti Dda ennyuma wange, Setaani, oli nkonge gye ndi: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu. 24#Mat 10:38,39Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti Omuntu bw'ayagala okujja ennyuma wange, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere. 25Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza: na buli alibuza obulamu bwe ku lwange alibulaba. 26#Mat 4:8Kubanga omuntu kulimugasa kutya okulya ensi yonna, naye ng'afiiriddwa obulamu bwe? oba omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe? 27#Yok 5:29, Bar 2:6, Zab 62:12, Nge 24:12Kubanga Omwana w'omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika be; n'alyoka asasula buli muntu nga bwe yakola. 28#Mat 10:23Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w'omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe.

Obecnie wybrane:

Matayo 16: LUG68

Podkreślenie

Kopiuj

Porównaj

Udostępnij

None

Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj