1
Matayo 17:20
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
N'abagamba nti Olw'okukkiriza kwammwe okuba okutono: kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; so singa tewali kigambo kye mutayinza.
Porównaj
Przeglądaj Matayo 17:20
2
Matayo 17:5
Bwe yali ng'akyayogera, laba, ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza: laba, eddoboozi ne liva mu kire, nga ligamba nti Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire.
Przeglądaj Matayo 17:5
3
Matayo 17:17-18
Yesu n'addamu n'agamba nti Mmwe ab'emirembe egitakkiriza emikyamu, ndituusa wa okubeera nammwe? ndituusa wa okubagumiikiriza? mumundeetere wano. Yesu n'amuboggolera; dayimooni n'amuvaako: omulenzi n'awona okuva mu kiseera ekyo.
Przeglądaj Matayo 17:17-18