Matayo 18
18
1 #
Mak 9:33-47, Luk 9:46-48 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bagamba nti Kale ani omukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu? 2N'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza wakati waabwe, 3#Mat 19:14, Yok 3:3-5n'agamba nti Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka okufuuka ng'abaana abato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu. 4Kale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu. 5#Mat 10:40, Yok 13:20Na buli alisembeza omwana omuto omu ng'ono mu linya lyange ng'asembezezza nze: 6#Luk 17:1,2naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza, waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja. 7Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza! 8#Mat 5:29,30Oba ng'omukono gwo oba kugulu kwo nga kukwesittaza, kutemeko, okusuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'obuzeeko omukono oba kugulu, okusinga okusuulibwa mu muliro ogw'emirembe n'emirembe, ng'olina emikono gyombi oba amagulu gombi. 9Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi. 10#Beb 1:14Mulabe nga temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu. [ 11Kubanga Omwana w'omuntu yajja okulokola ekyabula.] 12#Luk 15:4-7Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda, n'agenda ku nsozi, n'anoonya eyo ebuzeeko? 13Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. 14Bwe kityo tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.
15 #
Leev 19:17, Luk 17:3, Bag 6:1 Muganda wo bw'akukola obubi, genda omubuulirire ggwe naye mwekka: bw'akuwulira, ng'ofunye muganda wo. 16#Mat 19:15Naye bw'atawulira, twala omulala naawe oba babiri, era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kikakate. 17#1 Kol 5:13Era bw'agaana okuwulira abo, buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza. 18#Mat 16:19, Yok 20:23Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mu ggulu: era byonna bye mulisumulula ku nsi birisumululibwa mu ggulu. 19#Mak 11:24Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu. 20#Mat 28:20, Yok 14:23Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe.
21Awo Peetero n'ajja, n'amugamba nti Mukama wange, muganda wange bw'annyonoonanga, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? okutuusa emirundi musanvu? 22#Luk 17:4Yesu n'amugamba nti Sikugamba nti Okutuusa emirundi musanvu; naye nti Okutuusa emirundi ensanvu emirundi omusanvu. 23Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaananyizibwa n'omuntu eyali kabaka, eyayagala okubala omuwendo n'abaddu be. 24Bwe yasooka okubala, ne bamuleetera omu, gw'abanja ettalanta akakumi. 25Naye kubanga teyalina kya kusasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'ebintu byonna by'ali nabyo, ebbanja liggwe. 26Awo omuddu n'agwa wansi n'amusinza, ng'agamba nti Mukama wange, mmanja mpola, nange ndikusasula byonna. 27Mukama w'omuddu oyo n'amusaasira, n'amuta, n'amusonyiwa ebbanja. 28Naye omuddu oyo n'afuluma, n'asanga muddu munne, gwe yali abanja eddinaali ekikumi: n'amukwata, n'amugwa mu bulago, ng'agamba nti Sasula ebbanja lyange. 29Awo muddu munne n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'agamba, nti Mmanja mpola, nange ndikusasula. 30N'atakkiriza: naye n'agenda n'amuteeka mu kkomera, amale okusasula ebbanja. 31Awo baddu banne bwe baalaba bwe bibadde, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebigambo byonna ebibaddeyo. 32Awo mukama we n'amuyita n'amugamba nti Ggwe omuddu omubi, nakusonyiwa ebbanja liri lyonna, kubanga wanneegayirira: 33naawe tekikugwanidde kusaasira muddu munno, nga nze bwe nnakusaasira ggwe? 34#Mat 5:26Mukama we n'asunguwala, n'amuwa mu bambowa, amale okusasula ebbanja lyonna. 35#Mat 6:14,15Bw'atyo Kitange ali mu ggulu bw'alibakola, bwe mutasonyiwa mu mitima gyammwe buli muntu muganda we.
Obecnie wybrane:
Matayo 18: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.