Ekyamateeka Olwokubiri 5
5
Amateeka Ekkumi
1Awo Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti, “Wulira, ggwe Isiraeri, amateeka n'ebiragiro bye mbategeeza leero, mubiyige, mubikwatenga era mu bikolenga. 2Mukama Katonda waffe yalagaana endagaano naffe ku lusozi Kolebu.#Kuv 19:5; 24:7,8 3Mukama teyalagaana ndagaano eyo na bajjajjaffe bokka, naye era naffe ffenna abalamu abali wano leero. 4Mukama yayogera nammwe ng'asinziira ku lusozi, wakati mu muliro nga mulaba.#Kubal 14:14, Ma 4:12 5Mu biro ebyo, nange nnayimirira wakati wa Mukama nammwe, okubategeeza ekigambo kya Mukama; kubanga mwali mutidde omuliro ne mutalinnya ku lusozi, Mukama bwe yayogera nti, 6‘Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.’ ”#Kuv 20:2-17
7“ ‘Tobanga na bakatonda balala we ndi.’ ”
8“ ‘Teweekoleranga kifaananyi kyole, eky'ekintu kyonna ekiri mu waggulu mu ggulu, newakubadde wansi ku ttaka, newakubadde mu mazzi agali wansi w'ettaka: 9tobivuunamiranga, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, awalana ku baana obubi bwa bajjajjaabwe, ne ku bannakabirye ne ku bannakasatwe ku abo abankyawa; 10era asaasira abantu nkumi na nkumi abanjagala era, abeekuuma amateeka gange. ’ ”
11“ ‘Tolayiriranga bwereere linnya lya Mukama Katonda wo: kubanga Mukama talirema ku mussaako musango omuntu alayirira obwereere erinnya lye.’ ”
12“ ‘Okwatanga olunaku olwa Ssabbiiti okulutukuza, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira. 13Ennaku omukaaga okolanga n'omala emirimu gyo gyonna: 14naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo: tolukolerangako mirimu gyonna ggwe, newakubadde mutabani wo newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ente yo, newakubadde endogoyi yo, newakubadde ebisolo byo byonna, newakubadde munnaggwanga ali ewuwo; omuddu wo n'omuzaana wo bawummulenga nga ggwe.#Kuv 23:12 15Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akuggyamu n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa. Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okwekuumanga olunaku olwa Ssabbiiti.’ ”#Kuv 20:11
16“ ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira; ennaku zo zibe nnyingi, era olabe ebirungi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.’ ”
17“ ‘Tottanga. 18So toyendanga. 19So tobbanga. 20So towaayirizanga muntu munno. 21So teweegombanga mukazi wa muntu munno, so toyaayaaniranga nnyumba ya muntu munno, newakubadde ennimiro ye, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye newakubadde endogoyi ye, newakubadde ekintu kyonna ekya muntu munno. ’ ”
22“Ebigambo ebyo Mukama yabibuulira ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ne mu kire ne mu kizikiza ekikutte, n'eddoboozi ddene, n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja n'abimpa.”#Kuv 24:12, Ma 4:11
Okutya kw'abantu
23“Awo olwatuuka, bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza wakati, olusozi nga lwaka omuliro, ne munsemberera awamu n'abakulu bonna ab'ebika byammwe, n'abakadde bammwe; 24ne mwogera nti, ‘Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n'obukulu bwe, era tuwulidde eddoboozi lye nga liva mu muliro wakati. Leero tulabye nga kisoboka Katonda okwogera n'omuntu n'asigala nga mulamu.#Ma 4:33 25Kale kaakano tufiira ki? Kubanga omuliro guno omungi gunaatuzikiriza; bwe tunaddamu nate okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe tujja kufa. 26Kubanga ani ku balina omubiri bonna eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu nga lyogera nga liva mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, n'aba mulamu? 27Ggwe sembera owulire byonna Mukama Katonda waffe by'anaayogera; olyoke otubuulire byonna Mukama Katonda waffe by'anaakubuulira; naffe tulibiwulira ne tubikola.’#Kuv 20:19 28Mukama n'awulira ebigambo bye mwayogera nange, n'aŋŋamba nti, ‘Mpulidde ebigambo abantu bano bye bakugambye. Byonna bye boogedde birungi. 29Kale singa bulijjo baba n'omutima ng'ogwo, bandintidde ne beekuumanga ebiragiro byange byonna, bo n'ezadde lyabwe; bandibadde bulungi ennaku zonna!#Ma 4:40; 32:29, Zab 81:13, Is 48:18 30Genda obagambe nti muddeyo mu weema zammwe. 31Naye ggwe beera wano we ndi, nkubuulire ebiragiro byonna n'amateeka by'olibayigiriza, balyoke babikolenga mu nsi gye mbawa okubeeramu.’ 32Kale mwegenderezenga okukolanga nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira, temukyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.#Ma 17:20, Yos 1:7 33Mutambulirenga mu kkubo lyokka Mukama Katonda wammwe ly'abalagira, mulyoke mubenga abalamu, era mulabe ebirungi, era muwangaale ennaku nnyingi mu nsi gye mugenda okutuulamu.”#Ma 4:40; 10:12, Yer 7:23
Attualmente Selezionati:
Ekyamateeka Olwokubiri 5: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.