Ennaku omukaaga okolanga n'omala emirimu gyo gyonna: naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo: tolukolerangako mirimu gyonna ggwe, newakubadde mutabani wo newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ente yo, newakubadde endogoyi yo, newakubadde ebisolo byo byonna, newakubadde munnaggwanga ali ewuwo; omuddu wo n'omuzaana wo bawummulenga nga ggwe.