Ekyamateeka Olwokubiri 6
6
Etteeka ekkulu
1“Kale gano ge mateeka n'ebiragiro, Mukama Katonda wammwe bye yalagira okubayigiriza, mulyoke mubikolenga mu nsi, gye mugenda okubeeramu nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani. 2Mmwe n'abaana bammwe era ne bazzukulu bammwe, mussengamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa obulamu bwammwe bwonna. Mutuukirizenga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye bye mbawa, mulyoke muwangaale ennaku nnyingi.#Zab 128:1, Mub 12:13 3Kale wulira, ggwe Isiraeri, bw'otuukanga mu nsi Mukama Katonda wo gye yasuubiza bajjajjaabo, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, okwatanga ebyo byonna bye yakulagira olyoke olabenga ebirungi era olyoke oyale nnyo.”#Lub 15:5; 22:17
4“Wulira, ggwe Isiraeri; Mukama Katonda waffe ali omu.#Zek 14:9, Mak 12:29, 1 Kol 8:4,6 5Onooyagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna.#Mat 22:37, Luk 10:27 6Era ebigambo bino bye nkulagira tobyerabiranga; onoobikuuma mu mutima gwo,#Ma 11:18, Zab 37:31, Is 51:7 7era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw'onootuulanga mu nnyumba yo, era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga. 8Era onoobisibanga ku mukono gwo era onoobyetimbanga mu kyenyi okuba akabonero ak'okubikujjukizanga.#Kuv 13:9, Ma 11:18 9Era onoobiwandiikanga ku myango ne ku nzigi z'ennyumba yo.”#Ma 11:20
Okulabula Abaana ba Isiraeri baleme nate okujeema
10“Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo okugikuwa omuli ebibuga ebinene ebirungi by'otaazimba,#Yos 24:13, Zab 105:44 11n'ennyumba ezijjudde ebirungi byonna, by'otaateekamu, n'ebidiba by'otaasima, n'ensuku ez'emizabbibu n'emizeyituuni z'otaasimba, n'olya n'okkuta; 12kale weegendereze oleme okwerabira Mukama, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu.#Nge 30:8,9 13Otyanga Mukama Katonda wo; oyo gw'onooweerezanga, era erinnya lye ly'onoolayiranga.#Ma 10:20, Zab 63:11, Mat 4:10 14Temusinzanga bakatonda abalala ab'amawanga agabeetoolodde;#Ma 11:16; 13:17, Yer 25:6 15kubanga Mukama Katonda wo, Katonda wa buggya, obusungu bwe buleme okukubuubuukirako, n'akuzikiriza, n'akusaanyaawo.”#Kuv 20:5, Ma 11:17
16“Temukemanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwamukemera e Masa.#Kuv 17:2-7, Mat 4:7 17Munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe n'ebyo bye yategeeza, n'amateeka ge, ge yakulagira.#Zab 119:4 18Bw'onookolanga ebiri mu maaso ga Mukama ebituufu era ebirungi, olyoke olabenga ebirungi era oyingire otuule mu nsi ennungi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo. 19Ogobangamu abalabe bo bonna, nga Mukama bwe yayogera.”
20“Omwana wo bw'akubuuzanga mu biro ebigenda okujja, ng'ayogera nti, ‘Ebyo Mukama Katonda waffe bye yabalaga, n'amateeka n'ebiragiro bitegeeza ki?’#Kuv 13:14 21N'olyoka ogamba omwana wo nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu Misiri; Mukama n'atuggya mu Misiri n'omukono ogw'amaanyi; 22era Mukama n'akola obubonero n'eby'amagero, ebinene era ebizibu, ku Misiri, ku Falaawo, ne ku nnyumba ye yonna, nga tulaba.#Zab 135:9 23n'atuggya omwo, alyoke atuyingize, okutuwa ensi gye yalayirira bajjajjaffe. 24Era Mukama n'atulagira okukwatanga amateeka ago gonna, okutyanga Mukama Katonda waffe olw'obulungi bwaffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli balamu nga bwe tuli kaakano.#Ma 8:1; 10:13, Zab 41:2 25Era kinaabanga kirungi gyetuli, okwegenderezanga n'okukolanga byonna Mukama Katonda waffe bye yatulagira, bwe tunaakwatanga okukola ekiragiro kino kyonna mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira.’ ”#Ma 24:13
Attualmente Selezionati:
Ekyamateeka Olwokubiri 6: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.