Ekyamateeka Olwokubiri 4
4
Musa akuutira Isiraeri okukwata amateeka ga Katonda
1“Kale kaakano, ggwe Isiraeri, wulira amateeka n'ebiragiro, bye mbayigiriza, okubikolanga; mulyoke mube balamu, muyingire mutuule mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gy'abawa.#Ma 8:1, Ez 20:11 2Temwongeranga ku kigambo kye mbalagira, so temukisalangako, mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbalagira.#Ma 12:32, Kub 22:18,19 3Mmwe bennyini mwalaba Mukama Katonda kye yakola e Pyoli, bwe yazikiriza abantu abo abaali mu mmwe abaasinza Baali ow'e Pyoli.#Kubal 25:3-9 4Naye mmwe abaanywerera ku Mukama Katonda wammwe, mukyali balamu okutuusa leero. 5Laba, mbayigirizza amateeka n'ebiragiro, nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mubikwatenga nga mutuuse mu nsi gye mugenda okutuulamu. 6Kale mubyekuumenga, mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n'okutegeera kwammwe eri amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti, ‘Mazima eggwanga lino kkulu, be bantu ab'amagezi era abategeera.’#Yob 28:28, Zab 111:10, Nge 9:10 7Kubanga ggwanga ki eririna katonda abali okumpi nga Mukama Katonda waffe bw'ali, buli lwe tumukoowoola?#2 Sam 7:23, 1 Bassek 6:13, Zab 145:18, Is 55:6 8Era ggwanga ki ekkulu eririna amateeka n'ebiragiro eby'ensonga ng'amateeka gano gonna bwe gali, ge ntadde mu maaso gammwe leero?#Bar 7:12, 1 Bassek 8:51
9“Kyokka weegendereze, weekuume emmeeme yo, nyiikira oleme okwerabira ebyo byonna amaaso go bye gaalaba, bireme okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez'obulamu bwo; era bitegeezenga abaana bo ne bazzukulu bo;#Lub 18:19, Ma 6:7; 11:19, Zab 78:4-6, Nge 4:23 10olunaku lwe wayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wo wansi w'olusozi Kolebu; Mukama bwe yaŋŋamba nti, ‘Nkuŋŋaanyiza abantu, mbategeeze ebigambo byange, bayige okuntyanga ennaku zonna ze banaamalanga nga balamu ku nsi, era bayigirizenga n'abaana baabwe.’#Kuv 19:9,16, Ma 17:19; 31:12
11“Ne musembera ne muyimirira wansi w'olusozi; olwali lubikkiddwa ebire ebikwafu, eby'omukka omuddugavu, ne lwaka omuliro, ne gutumbiira mu bbanga.#Kuv 19:17,18, Beb 12:18 12Mukama n'ayogera nammwe ng'ayima wakati mu muliro; naye mwawulira ddoboozi lya bigambo lyokka, naye temwalaba kifaananyi kyonna.#Kuv 20:1,19,22, Ma 4:33,36; 5:4,22 13N'ababuulira endagaano ye, gye yabalagira okukola, ge mateeka ekkumi; n'agawandiika ku bipande eby'amayinja bibiri.#Kuv 24:12; 34:28, Ma 9:9 14Mu biro ebyo Mukama n'andagira okubayigiriza amateeka n'ebiragiro, bye munaakolanga mu nsi gye mugenda okutuulamu.#Kuv 21:1
Okulabula ku kusinza ebifaananyi
15“Kale mwekuume nnyo; kubanga temwalaba kifaananyi kyonna ku lunaku Mukama lwe yayogera nammwe ku Kolebu ng'ayima wakati mu muliro;#Ma 4:12 16mwekuume muleme kwonoona nga mwekolera ekifaananyi ekyole eky'engeri yonna, eky'ekintu ekisajja oba ekikazi,#Kuv 20:4, Ma 5:8, Bar 1:23 17eky'ensolo yonna ku nsi, eky'ekinyonyi eky'ebiwaawaatiro ekibuuka mu bbanga, 18oba eky'ekintu kyonna ekyewalula ku ttaka, wadde eky'ekyennyanja ekibeera wansi mu mazzi.
19“Toyimusanga amaaso mu ggulu n'olaba enjuba, omwezi n'emmunnyeenye eby'omuggulu, n'osendebwasendebwa okubisinza oba okubiweereza, kubanga Mukama Katonda wo ebyo yabiteerawo amawanga gonna agali ku nsi.#Ma 17:3, 1 Bassek 6:13, Zab 145:18, Is 55:6 20Naye Mukama yabatwala, n'abaggya mu bulumi n'okubonyaabonyezebwa okungi mu Misiri, mulyoke mubeere abantu be abe nvuma nga bwe muli leero.#1 Bassek 8:51 21Naye nze Mukama yansuguwalira ku lwammwe, n'alayira era n'anziyiza okusomoka Yoludaani, newakubadde okuyingira mu nsi eyo ennungi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obutaka.#Kubal 20:12 22Naye nze nja kufiira mu nsi muno, sijja kusomoka Yoludaani; naye mmwe mulisomoka, ne mutuula mu nsi eyo ennungi.#Ma 3:25,27 23Mwekuume mulemenga okwerabira endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yalagaana nammwe; temwekoleranga ekifaananyi ekyole eky'ekintu kyonna era eky'engeri yonna, Mukama Katonda wo kye yakugaana.#Ma 4:16 24Kubanga Mukama Katonda wo wa buggya, gwe muliro ogwokya.#Kuv 20:5; 24:17
25“Ne bwe muliba nga mumaze ebbanga ggwanvu mu nsi eyo, nga muzadde abaana, era nga mulina n'abazzukulu, temugezanga ne mwonoona nga mwekolera ekifaananyi eky'engeri yonna. Ekyo kibi mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era kirimusunguwaza.#2 Bassek 17:17 26Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, mulizikirira ne muggweerawo ddala mangu mu nsi gye muyingira okutuulamu, nga musomose omugga Yoludaani.#Ma 11:17; 30:18, Is 1:2 27Era Mukama alibasaasaanyiza mu mawanga, mulisigalawo batono mu bantu, eyo ewala Mukama gy'alibatwala.#Leev 26:33, Ma 28:62,64, Nek 1:8, Zab 115:4-7, Is 44:9; 46:7, Ez 12:15 28Eyo gye muliweerereza ba katonda abakolebwa n'emikono gy'abantu ab'emiti, n'amayinja, abatalaba, abatawulira, abatalya newakubadde okuwunyiriza. 29Naye nga muli eyo bwe munaanoonyanga Mukama Katonda wammwe, n'omutima gwammwe gwonna, n'obulamu bwammwe bwonna munaamulabanga.#2 Byom 15:4, Is 55:6,7, Yer 29:13 30Bw'onoolabanga ennaku, era ebyo byonna nga bikujjidde, ku nkomerero onookomangawo eri Mukama Katonda wo, n'owulira eddoboozi lye; 31kubanga Mukama Katonda wo wa kusaasira; taakulekenga, so taakuzikirizenga, so teyeerabirenga ndagaano ya bajjajja bo gye yabalayirira.#Kuv 34:6, Ma 31:6,8, 2 Byom 30:9, Nek 9:31, Yon 4:2
32“Kale mwetegereze ebyaliwo mu mirembe egy'edda, okuviira ddala emabega, Katonda bukya atonda bantu ku nsi. Mwetegereze ensi yonna. Ekintu ekikulu nga kino kyali kibaddewo, era waliwo eyali akiwuliddeko? 33Waali wabaddewo abantu abaawulira eddoboozi lya Katonda nga lyogera okuva wakati mu muliro nga ggwe bwe waliwulira, ne baba balamu?#Ma 4:12 34Waliwo Katonda yenna eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga ng'aliggya wakati mu ggwanga eddala ng'akozesa obubonero, eby'amagero, entalo, n'engalo ez'amaanyi, n'omukono ogwagololwa, n'eby'entiisa ebikulu, nga byonna bwe byali Mukama Katonda wammwe bye yabakolera e Misiri nga mulaba? 35Ebyo Mukama yabibalaga mmwe, mulyoke mumanye nti ye, ye Katonda yekka, tewali mulala.#Ma 4:39, 1 Sam 2:2, 2 Sam 22:32, Is 45:5,18,21, Mak 12:32 36Mmwe yabawuliza eddoboozi lye ng'asinziira mu ggulu, alyoke abayigirize. Ne ku nsi yabalaga omuliro gwe ogw'amaanyi, ne muwulira bye yayogerera wakati mu gwo.#Kuv 19:9,19; 20:22, Ma 4:12 37Olw'okwagala bajjajjammwe, ye yennyini yabalondamu mmwe bazzukulu baabwe, n'abaggya mu Misiri n'obuyinza bwe obungi.#Kuv 33:14, Ma 10:15, Is 63:9 38N'agoba mu maaso go amawanga agaakusinga obukulu n'amaanyi, n'akuyingiza ggwe, n'akuwa ensi yaabwe okuba obutaka bwo nga bwe kiri leero.#Kuv 23:27,28 39Kale manya leero, era okisse ku mwoyo, nga Mukama ye Katonda mu ggulu waggulu ne mu nsi wansi; tewali mulala.#Ma 4:35, Yos 2:11, 2 Byom 20:6 40Era oneekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye nkulagira leero olyoke olabenga ebirungi ggwe n'abaana bo abaliddawo, era owangaale nnyo ku nsi, Mukama Katonda wo gy'akuwa emirembe gyonna.”#Leev 22:31
Ebibuga eby'okuddukiramu ebuvanjuba bwa Yoludaani
41Awo Musa n'alyoka ayawula ebibuga bisatu emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba;#Kubal 35:6,14 42omuntu anattanga munne mu butanwa, addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo, awone okuttibwa. 43Bezeri ekiri mu ddungu, mu lusenyi, okuba eky'Abalewubeeni; ne Lamosi ekiri mu Gireyaadi okuba eky'Abagaadi; ne Golani ekiri mu Basani okuba eky'Abamanase.#Yos 20:8
Ekitundu eky'okubiri eky'okwogera kwa Musa: Ayogera ku mateeka ekkumi
(4:44—11:32)
Musa ayanjula amateeka ga Katonda
44Era gano ge mateeka Musa ge yateeka mu maaso g'abaana ba Isiraeri; 45na buno bwe bujulirwa n'amateeka n'ebiragiro, Musa bye yabuulira abaana ba Isiraeri bwe baava mu Misiri. 46Bwe baali emitala wa Yoludaani, mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli, mu nsi eyali eya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, Musa n'abaana ba Isiraeri gwe baakuba, bwe baali bava e Misiri;#Kubal 21:24, Ma 3:29 47ne batuula mu nsi ye, wamu n'ensi ya Ogi eyali kabaka w'e Basani; bakabaka bombi ab'Abamoli, abaabeeranga emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.#Kubal 21:33,35 48Ekitundu kino, kiva ku kibuga Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu Alunoni okutuuka ku lusozi Sayuuni, oluyitibwa Kerumooni. Okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, okutuusa ku lusozi Sayuuni, olwo ye Kerumooni,#Ma 2:36; 3:8,9 49ne kitwaliramu Alaba yonna emitala wa Yoludaani, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okutuukira ddala ku nnyanja Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, wansi w'olusozi Pisuga.
Attualmente Selezionati:
Ekyamateeka Olwokubiri 4: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.