Ekyamateeka Olwokubiri 3
3
Isiraeri awangula kabaka Ogi
(Kubal 21:31-35)
1“Ne tulyoka tukyuka ne twambukira mu kkubo erigenda e Basani. Ogi kabaka w'e Basani n'asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna, okutulwanyisiza mu Ederei.#Kubal 21:33-35 2Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Tomutya, kubanga muwaddeyo gy'oli, ye n'abantu be, wamu n'ensi ye mu mukono gwo; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli, abaatuulanga mu Kesuboni.’ ”
3“Awo Mukama Katonda waffe n'awaayo Ogi, Kabaka we Basani n'abantu be bonna mu mukono gwaffe, ne tubatta bonna ne watasigalawo n'omu. 4Ne tuwamba ebyali ebibuga bye byonna mu kiseera ekyo. Tewali kibuga na kimu kye tutaabawambako. Byonna awamu byali ebibuga nkaaga (60), eby'omu kitundu kyonna ekya Arugobu, ebyali obwakabaka bwa Ogi mu Basani.#1 Bassek 4:13 5Ebyo byonna byali ebibuga ebyazimbibwako bbugwe omugulumivu nga birina enzigi n'ebisiba; okwo kw'ogatta n'ebibuga ebirala bingi nnyo ebitaaliko bbugwe. 6Ne tubizikiririza ddala nga bwe twakola Sikoni kabaka w'e Kesuboni, nga mu buli kibuga tuzikiririza ddala abasajja, n'abakazi, n'abaana abato.#Ma 2:34,35 7Naye ente zonna n'ebintu ebirala byonna bye twanyaga mu bibuga ne tubyetwalira ng'omunyago.”
8“Era mu biro ebyo ne tuwamba ensi ya bakabaka bombi ab'Abamoli ababeeranga emitala wa Yoludaani, okuva mu kiwonvu kya Alunoni okutuusa ku lusozi Kerumooni. 9Edda Kerumooni Abasidoni baakiyitanga Siriyooni, ate Abamoli bo bakiyitanga Seniri.#1 Byom 5:23, Zab 29:6; 42:6 10Twawamba ekitundu kyonna eky'obwakabaka bwa Ogi mu Basani; ebibuga byonna eby'omu lusenyi, n'ebitundu byonna ebya Gireyaadi n'ebya Basani, okutuukira ddala e Saleka ne Edereyi.”#Yos 13:11,12,21 11“Ogi kabaka w'e Basani ye yekka eyali akyasigaddewo ku Balefa; n'essanduuko ey'amayinja mwe baamuziika obuwanvu bwayo bwali emikono mwenda n'obugazi emikono ena, ng'omukono gw'omuntu bwe guli.”#Ma 2:11,20, 2 Sam 12:26
Ebika by'abaana ba Isiraeri ebyasenga ebuvanjuba bwa Yoludaani
(Kubal 32:1-42)
12“Mu biro ebyo ensi eyo ne tugiwangula ne tugituulamu. Abalewubeeni n'Abagaadi ne mbawa ekitundu okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'ekitundu ky'ensi ey'ensozi eya Gireyaadi, n'ebibuga byamu.#Kubal 32:33-38, Yos 13:8-12 13Ekitundu ky'ekika kya Manase ne nkiwa ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, ne Basani yonna, obwali obwakabaka bwa Ogi, y'ensi yonna eya Alugobu, eyali eyitibwa ensi ya Balefa.#Yos 13:29-31 14Yayiri, mutabani wa Manase, n'atwala oluuyi lwonna olwa Alugobu okutuuka ku nsalo y'Abagesuli n'Abamaakasi. Ebyalo ebyo byonna n'abituuma Basani, erinnya lye, era bimanyiddwa ng'ebyalo bya Yayiri n'okutuusa leero.#Kubal 32:41, Yos 13:13 15Makiri ne mmuwa Gireyaadi.#Kubal 32:39,40 16Ekika kya Lewubeeni n'ekika kya Gaadi ne mbiwa okuva ku Gireyaadi okutuusa ku kiwonvu kya Alunoni, ng'amakkati g'ekiwonvu ye nsalo mu bukiikaddyo, ate Omugga Yabboki nga ye nsalo n'Abamoni mu bukiikakkono.#Yos 12:2 17Ku ludda olw'ebugwanjuba, ekitundu kyabwe ne kituuka ku mugga Yoludaani, okuva ku nnyanja Kinneresi mu bukiikakkono, okutuuka ku Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, n'okutuukira ddala wansi w'olusozi Pisuga ku ludda olw'ebuvanjuba.”#Kubal 34:11, Ma 4:49, Yos 12:3
18“Ne mbalagira mu biro ebyo nga njogera nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugituulamu; naye abasajja bonna abazira, nga bakutte eby'okulwanyisa, banaasomoka ne baganda baabwe abaana ba Isiraeri.#Kubal 32:20,21 19Naye bakazi bammwe n'abaana bammwe abato n'ebisibo byammwe, mmanyi nga mulina ebisibo bingi, binaabeeranga mu bibuga byammwe bye nnabawa.#Yos 1:14,15 20Muyambe baganda bammwe okutuusa lwe baliwangula ne bakkalira mu nsi Mukama gy'abawa emitala wa Yoludaani, olwo nammwe ne mulyoka mudda mu butaka bwammwe bwe nnabawa. ’ ”
21“Mu biro ebyo ne ndagira Yoswa ne mugamba nti, ‘Olabidde ddala n'amaaso go ebyo byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze ku bakabaka abo ababiri. Bw'atyo Mukama bw'ajja okukola ku buli bwakabaka bwe mugenda okulumba. 22Temubatyanga, kubanga Mukama Katonda wammwe, ye an'abalwaniriranga.’ ”#Kuv 14:14
Musa agaanibwa okuyingira mu nsi ye Kanani
23“Mu biro ebyo ne nneegayirira Mukama nga njogera nti, 24‘Ayi Mukama Katonda, olaze omuddu wo obukulu bwo n'omukono gwo ogw'amaanyi; kubanga katonda ki omulala ali mu ggulu oba mu nsi ayinza okukola ng'emirimu gyo bwe giri era ng'ebikolwa byo eby'amaanyi bwe biri?#Kuv 15:11, Ma 11:2, 1 Byom 29:11 25N'olw'ekyo, nkwegayiridde nzikiriza nsomoke ndabe ku nsi ennungi eri emitala wa Yoludaani, olusozi luli olulungi, ne Lebanooni.’#Kuv 3:8, Yos 1:4 26Naye Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe n'atampulira. Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Kikumale; toyogera nate nange ku kigambo ekyo.#Ma 1:37 27Kale linnya ku ntikko ya Pisuga, oyimuse amaaso go otunule ebugwanjuba n'obukiikakkono n'obukiikaddyo, n'ebuvanjuba, olabe n'amaaso go ensi eyo; kubanga tolisomoka mugga guno Yoludaani.#Kubal 27:12,13 28Naye kuutira Yoswa omugumye, omuwe amaanyi kubanga ye alikulembera abantu bano okusomoka era ye, ye alibagabira ensi gy'onoolaba.’ ”#Kubal 27:18-20, Ma 1:38
29“Awo ne tusigala mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli.
Attualmente Selezionati:
Ekyamateeka Olwokubiri 3: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.