TOBIITI 7
7
Mu nnyumba ya Ragweli
1Olwaba okutuuka mu kibuga Ekubatana, Tobiya n'agamba nti: “Sseruganda Azariya, ntwala mangu ewa Ragweli.” Malayika n'amutuusa ku nnyumba ya Ragweli, ne bamusanga ng'atudde mu mulyango ogw'omu maaso. Be baasooka okumulamusa. Ye n'addamu nti: “Abooluganda, nsanyuse okubalaba. Muyingire.” N'abayingiza mu nnyumba. 2Awo n'agamba mukazi we Edina nti: “Omuvubuka ono ng'afaanana muganda wange Tobiiti!”
3Edina n'ababuuza nti: “Muva wa?” Tobiya ne Rafayeeli ne baddamu nti: “Tuli Bayisirayeli ab'omu Kika kya Nafutaali. Naye kati tuli mu buwaŋŋanguse mu kibuga Nineeve ekya Assiriya.”
4Edina n'agamba nti: “Mumanyi muganda waffe Tobiiti?” Ne baddamu nti: “Tumumanyi bulungi.” Era n'abuuza nti: “Ali bulungi?” Ne baddamu nti: 5“Mulamu era ali bulungi.” Tobiya n'ayongerako nti: “Ye kitange.”
6Awo Ragweli n'asituka nga bw'akaaba n'amaziga olw'essanyu, n'anywegera Tobiya.#Laba ne Nta 33:4; 45:14; Luk 15:20 7Olwo n'agamba nti: “Katonda akuwe omukisa, mwana wange! Kitaawo musajja mulungi. Nga kitalo nnyo omusajja omwesimbu era ow'ekisa bw'atyo okuziba amaaso!” Awo n'awambaatira Tobiya era n'akaaba amaziga. 8Mukazi we Edina ne muwala we Saara nabo ne bakaaba olwa Tobiiti.
Ragweli n'asanyukira nnyo Tobiya ne Rafayeeli, n'abattira n'endiga ey'omu kisibo kye. Abagenyi bwe baamala okunaabako ne batukula, baali nga basembera ku lujjuliro, Tobiya n'agamba Rafayeeli nti: “Sseruganda Azariya, saba Ragweli ampe Saara mmuwase.”
9Ne Ragweli n'awulira ebigambo ebyo. N'agamba Tobiya nti: 10“Sooka olye era onywe, osanyuke akawungeezi kano. Ggwe ogwanira okuwasa Saara, era siyinza kumuwa mulala, kubanga ggwe onninako oluganda olusinga okuba olw'okumpi. Naye nteekwa okukuggyirayo amazima, mwana wange. 11Namuwa dda abasajja musanvu be nninako oluganda. Buli omu n'afa mu kiro kyennyini eky'embaga, nga yaakayingira mu kisenge ekisulwamu. Naye kaakano, mwana wange, lya era nnywa. Mukama anaabakuuma mwembi.”
Tobiya n'agamba nti: “Sijja kulya wadde okunywa nga sinnawulira ky'osazeewo.” 12Ragweli n'akkiriza nti: “Kale, mmukuwadde abe mukazi wo ng'Amateeka ga Musa bwe galagira. Katonda ali mu ggulu ye yategeka obufumbo bwammwe buno. N'olwekyo ggwe mutwale abe mukazi wo. Okuva n'olwaleero, oli wuwe, naye wuwo. Kati wuwo ennaku zonna. Mukama ali mu ggulu abakuume mwembi ekiro kino, era abakwatirwe ekisa.”
Omukolo ogw'obugole
13Awo Ragweli n'ayita muwala we. Bwe yajja, n'amukwata ku mukono, n'amuwa Tobiya nga bw'agamba nti: “Mutwale ggwe abe mukazi wo ng'Amateeka ga Musa bwe galagira. Mutwale mirembe mu nnyumba ya kitaawo. Katonda ali mu ggulu abawe omukisa mu bulamu bwammwe obwawamu.”
14Awo Ragweli n'asaba mukazi we amuwe olupapula kw'anaawandiika endagaano ey'obufumbo. Edina n'aluleeta. Ragweli n'awandiikako endagaano ekakasa nga Saara bw'aweereddwa Tobiya ng'Amateeka ga Musa bwe galagira. 15Omukolo bwe gwaggwa, ne batandika okulya.
16Ragweli n'ayita mukazi we, n'amugamba nti: “Wattu, teekateeka ekisenge ekitaliimu bantu, otwaleyo Saara.”
17Edina n'ateekateeka ekisenge nga Ragweli bwe yamugamba, era n'atwalayo Saara. Saara n'atandika okukaaba. Edina n'amusangula amaziga nga bw'agamba nti: 18“Teweeraliikirira Saara, Mukama ali mu ggulu waali. Ku mulundi guno ajja kukuwa ssanyu, sso si kunakuwala. Ba mugumu, mwana wange.” Awo Edina n'afuluma.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.