OKUBIKKULIRWA 2
2
Okuwandiikira abakkiriza ab'omu Efeso
1“Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza eky'omu Efeso, muwandiikire nti:
“Oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, era atambulira wakati w'ebikondo by'ettaala omusanvu ebya zaabu, bino by'agamba nti: 2Mmanyi ebikolwa byo n'okufuba kwo, n'okugumiikiriza kwo. Mmanyi nga toyinza kugumiikiriza babi. Era abo abaali beeyita abatume, sso nga si batume, wabageza n'obalaba nga balimba. 3Olina obugumiikiriza, wagumira byonna ku lwange, n'ototerebuka. 4Kyokka nnina kye nkuvunaana: waleka okwagala kwe walina olubereberye. 5Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okole bye wakolanga olubereberye. Bw'oteenenye, nja kujja gy'oli, nzigyewo ekikondo kyo eky'ettaala mu kifo kyakyo. 6Naye kino kye kirungi ky'olina: okyawa ebikolwa by'abagoberezi ba Nikolaawo, nange bye nkyawa.
7“Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. Awangula ebibi, ndimuwa obuyinza okulya ku bibala by'omuti ogw'obulamu, oguli mu kifo eky'okwesiima ekya Katonda.#Laba ne Nta 2:9; Kub 22:2; Ezek 28:13; 31:8
Okuwandiikira abakkiriza ab'omu Simiruna
8“Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Simiruna muwandiikire nti:
“Ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde n'aba omulamu, bino by'agamba nti:#Laba ne Yis 44:6; 48:12; Kub 1:17; 22:13 9Mmanyi okubonaabona kwo, n'obwavu bwo, kyokka oli mugagga. Mmanyi n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya, sso nga si Bayudaaya, wabula bagoberezi ba Sitaani. 10Totya ebyo by'ogenda okubonaabonamu. Laba, Sitaani anaatera okuteeka abamu ku mmwe mu kkomera mugezebwe, era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa ne bwe kiba kikutuusa ku kufa, nze ndikuwa engule ey'obuwanguzi.
11“Alina amatu, awulire ekyo Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. Awangula amaanyi ga Sitaani, okufa okwokubiri tekulimukolako kabi.#Laba ne Kub 20:14; 21:8
Okuwandiikira abakkiriza ab'omu Perugamo
12“Malayika ow'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Perugamo, muwandiikire nti:
“Oyo alina ekitala ekyogi ku njuuyi zaakyo zombiriri, bino by'agamba nti: 13Mmanyi gy'obeera, awali entebe ey'obwakabaka eya Sitaani. Kyokka onnywereddeko. Ne mu kiseera Antipa, omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa ewammwe, Sitaani gy'abeera, wasigala okyanzikiriza. 14“Naye nnina ebitonotono bye nkuvunaana, kubanga eyo olinayo abagoberera okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okwesittaza Abayisirayeli, balye ebiweereddwayo eri ebyo ebitali Katonda, era bakole eby'obwenzi.#Laba ne Kubal 22:5,7; 31:16; Ma 23:4; Kubal 25:1-3 15Bw'otyo era naawe olina abagoberera okuyigiriza kw'Abanikolaawo. 16Kale weenenye. Bw'oteenenye, nja kujja mangu gy'oli, nnwanyise abantu abo n'ekitala eky'omu kamwa kange.
17“Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. Awangula amaanyi ga Sitaani, ndimuwa ku mannu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja eryeru, eriwandiikiddwako erinnya eriggya, eritamanyiddwa muntu mulala, wabula oyo alifuna.#Laba ne Kuv 16:14-15; 16:33-34; Yow 6:48-50; Yis 62:2; 65:15
Okuwandiikira abakkiriza ab'omu Tiyatira
18“Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Tiyatira muwandiikire nti: Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, ebigere bye nga biri ng'ekikomo ekizigule, bino by'agamba nti: 19Mmanyi by'okola. Mmanyi okwagala kwo, n'okugumiikiriza kwo, era mmanyi nga by'okola kaakano bingi okusinga bye wakolanga olubereberye. 20Naye nnina kye nkuvunaana: omukazi Yezebeeli eyeeyita omulanzi, wamuleka okukyamya abagoberezi bange, ng'abayigiriza okwenda n'okulya ebiweereddwayo eri ebyo ebitali Katonda. 21Namuwa ebbanga okwenenya, n'agaana okwenenya obwenzi bwe.
22“Kale njija kumuteeka ku ndiri abeere mu kubonaabona okungi wamu n'abo abaayenda naye, bwe bateenenye ebyo bye baakola naye. 23Era abagoberezi be ndibatta, ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo biryoke bitegeere nga nze wuuyo akebera ebirowoozo n'emitima. Buli omu ku mmwe ndimuwa ekimusaanidde, nga nsinziira ku bikolwa bye.#Laba ne Zab 7:9; 62:12; Yer 17:10
24“Naye mmwe abalala ab'omu Tiyatira, abatakkiriza kuyigiriza okwo era abatamanyi ebyo abamu bye bayita ebyama ebyomunda ennyo ebya Sitaani, mbagamba nti: sijja kubatikka buzito bulala, 25wabula ekyo kye mulina mukinyweze okutuusa lwe ndijja. 26Oyo awangula, n'akola bye ndagira okutuusa enkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga,#Laba ne Zab 2:8-9 27-28nga nange bwe nabuweebwa Kitange. Aligafugisa omuggo ogw'ekyuma, aligaasaayasa nga ayasaayasa ebibya eby'ebbumba. Era ndimuwa emmunyeenye ey'oku makya.
29“Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.