رفتن به محتوا

ZABBULI 78

78
Katonda mwesigwa
1Mmwe bantu bange
muwulire bye njigiriza.
Mutege amatu njogere.
2Nja kwogera mu lugero
nja kwatula ebikusike eby'edda,#Laba ne Mat 13:35
3bye twamanya, bye twawulira,
ebyatubuulirwa bajjajjaffe.
4Tetulibikisa baana
ab'omulembe oguliddirira.
Tulibabuulira obuyinza bwa Mukama
ne bye yakola ebikulu,
awamu n'ebyamagero.
5Yawa ebiragiro
bazzukulu ba Yakobo,
mu Yisirayeli amateeka yagassaamu.
Kwe kukuutira bajjajjaffe
bagayigirize abazzukulu.
6Gamanyibwe ab'emirembe egiriddirira,
nabo bagamanyise be bazaala.
7Era bwe batyo na bano
balyoke beesigenga Katonda,
baleme kwerabira bikolwa bya Mukama,
naye bakwatenga amateeka ge.
8Baleme kuba nga bajjajjaabwe
abaakakanyala ne bajeema.
Abataanywera mu kwesiganga Katonda,
era nga si beesigwa gy'ali.
9Aba Efurayimu nga balina
obusaale n'emitego
badda emabega
ku lunaku lw'olutalo.
10Endagaano ya Katonda baagimenya,
ne bajeemera amateeka ge.
11Bye yali akoze tebaabijjukira,
ne bye yabalaga ebyamagero.
12Mu maaso ga bajjajjaabwe
we yakolera ebyewuunyo,
mu nsi y'e Misiri,
mu kisenyi ky'e Zowani.#Laba ne Kuv 7:8–12:32
13Yayawuza mu nnyanja,
ne bagiyitamu wakati.
Yayimiriza amazzi,
ne gafaanana entuumu.#Laba ne Kuv 14:21-22
14Yabakulembera na kire emisana,
ate ekiro kyonna
na mumuli gwa muliro.#Laba ne Kuv 13:21-22
15Yayasa amayinja mu ddungu,
n'abanywesa amazzi agava ebuziba.#Laba ne Kuv 17:1-7; Kubal 20:2-13
16Olwazi yaluggyamu ensulo z'amazzi,
amazzi ne gakulukuta ng'emigga.
17Naye ne bongera okwonoona,
mu ddungu ne bajeemera Atenkanika.
18Ne bakema Mukama mu bugenderevu,
nga bamusaba ebyokulya bye baayagala.#Laba ne Kuv 16:2-15; Kubal 11:4-23,31-35
19Ne boogera obubi ku Katonda:
baagamba nti: “Katonda ayinza
okuteekateeka emmere mu ddungu?
20Weewaawo yakuba olwazi
ne luvaamu amazzi.
Gaayiika ne gafuuka emigga egy'amaanyi.
Era ayinza abantu be okubawa
ennyama n'emmere kaakati?”
21Mukama bwe yawulira ebyo,
yasunguwala,
n'akuma ku ba Yakobo omuliro,
ku Bayisirayeli, obusungu bwe ne bunyooka,
22kubanga Katonda tebaamukkiriza,
era tebeesiga nti ye abalokola!
23Kyokka yagamba ebire mu bbanga,
yalagira eggulu lyeggulewo,
24n'abawa emmere eyalivaamu:
n'atonnyesa mannu gye banaalya.#Laba ne Yow 6:31
25Awo abantu ne balya
ku mmere ey'abamalayika,
gye yabawa ne bakkuta.
26Embuyaga eva ebuvanjuba yagikunsa,
era amaanyi ge ne galeeta eyo
eva mu bukiikaddyo.
27N'abaweereza ennyama
eyaze ng'enfuufu:
ze nnyonyi ennyingi
ng'omusenyu gw'ennyanja.
28Ne zigwa we basiisidde,
okwetooloola ensiisira zaabwe.
29Awo abantu ne balya ne bakkuta,
yabawa kye baali beegomba.
30Naye baali bakyalya,
ng'era bakyalina amaddu,
31Katonda n'abasunguwalira:
n'abattamu abo
abasinga okuba ab'amaanyi.
Yisirayeli n'afiirwa
abavubuka embulakalevu.
32Newaakubadde ebyo baabiraba,
era tebaalekayo kwonoona.
Wadde yabalaga ebyamagero,
beerema, tebaamukkiriza.
33Naye kwe kubeerawo ng'enfuufu,
era obulamu bwabwe
ne babumala mu kutya.
34Buli lwe yabattangamu abantu,
abalamu ne beenenya,
ne bamusemberera.
35Ne bajjukira nti
Katonda ye abakuuma,
era nti Katonda Atenkanika
Ye Mulokozi waabwe.
36Mu bigambo baamutendanga
naye nga bulimba bwereere.
37Tebaabanga beesigwa gy'ali:
endagaano ye tebaagikuumanga.
38Wabula Katonda ye,
yabakwatirwanga kisa,
n'abasonyiwa ebisobyo.
Era teyabasaanyaawo.
Emirundi mingi era
ng'obusungu bwe abufuga,
ne butabaggweerako bwonna.
39Yajjukira nti bantu abalifa,
era mbuyaga ekunta n'etedda.
40Emirundi mingi
gye baamujeemera mu ddungu,
ne bamunyiiriza mu lukoola.
41Nga bamugeza lutata,
ne banyiiza Omutuukirivu wa Yisirayeli.
42Beerabira obuyinza bwe,
n'olunaku lwe yabawonya omulabe,
43bwe yakola ebyewuunyo bye e Misiri
n'ebyamagero mu kisenyi ky'e Zowani.
44Emigga yagifuula omusaayi,
Abamisiri ne babulwa amazzi ge banywa.#Laba ne Kuv 7:17-21
45Yabasindikira ebibinja by'ensowera
ezaabaluma, n'ebikere ebyabazikiriza.#Laba ne Kuv 8:1-6,20-24
46Bye balimye yabigabira obuwuka,
era n'enzige ne zibyeriira.#Laba ne Kuv 10:12-15
47Omuzira gwakuba emizabbibu gyabwe,
n'emiti emitiini tegwagitaliza.#Laba ne Kuv 9:22-25
48Ente zaabwe yazitta n'omuzira,
endiga ne zikubwa laddu.
49Yabaleetera okunakuwala,
ng'abayiwako obusungu bwe n'ekiruyi,
bye yabatumira abazikirize.
50Teyaziyiza busungu bwe,
wadde okusaasira obulamu bwabwe,
wabula yabassa kawumpuli.
51Yatta abaggulanda bonna mu Misiri,
abasinga amaanyi mu maka ga Haamu.#Laba ne Kuv 12:29
52Olwo n'akulembera abantu be
ng'endiga ze,
n'abaluŋŋamya ng'eggana lye
abayise mu ddungu.#Laba ne Kuv 13:17-22
53N'abakulembera mirembe ne batatya.
Naye abalabe baabwe
ne bamiribwa ennyanja.#Laba ne Kuv 14:26-28
54N'atuusa abantu be
mu nsi ye entukuvu,
ku lusozi yennyini
lwe yawangula.#Laba ne Kuv 15:17; Yos 3:14-17
55Abantu be olwajja,
ensi n'agigobamu abalimu,
n'agiwa ebika bya Yisirayeli,
n'ennyumba za bali,
n'azigabira abazze.#Laba ne Yos 11:16-23
56Naye ne bageza Katonda Atenkanika,
ne batawulira biragiro bye.#Laba ne Balam 2:11-15
57Wabula ne badda emabega,
ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe,
ne beekyusiza mu kiti ng'embazzi.
58Baamusunguwaza
olw'amasabo gaabwe ag'oku nsozi,
ne bamunyiiza nnyo
olw'ebifaananyi ebyole.
59Katonda bwe yalaba ebyo n'asunguwala,
n'atamwa nnyo abantu ba Yisirayeli.
60N'ava mu weema ye mu Siilo
gye yabeerangamu ng'ali mu bo.#Laba ne Yos 18:1; Yer 7:12-14; 26:6
61Akabonero akategeeza obuyinza bwe,
n'akaleka okunyagibwa abalabe.#Laba ne 1 Sam 4:4-22
62Yasunguwalira abantu be,
n'abaleka battibwe n'ekitala.
63Omuliro ne gutta abavubuka baabwe,
bawala baabwe ne babulwa abawasa.
64Bakabona baabwe battibwa n'ebitala,
bannamwandu baabwe tebaakaaba.
65Olwo nno Mukama
n'aba ng'azuukuka mu tulo,
era ng'omuzira
akyamuddwa omwenge.
66N'agoba abalabe be
ne badda amabega,
ne bakwatibwa ensonyi ezitalikoma
67Kyokka n'aboola bazzukulu ba Yosefu,
n'atalonda kika kya Efurayimu.
68Wabula ekika kya Yuda
kye yalonda,
n'Olusozi Siyooni lw'ayagala.
69N'azimbako ekifo kye ekitukuvu,
ekiri ng'ensozi obugulumivu.
Ne kinywera ggulugulu ng'ensi,
gye yanywereza ddala ennaku zonna.
70N'alonda omuweereza we Dawudi,
gwe yaggya mu malundiro gye yali#Laba ne 1 Sam 16:11-12; 2 Sam 7:8; 1 Byom 17:7
71ng'alabirira endiga eziyonsa
kati alabirire aba Yakobo,
Abayisirayeli abantu ba Mukama.
72Yabalabirira mu mwoyo omulungi,
ng'abafuga n'amagezi.