ZABBULI 76
76
Katonda omuwanguzi
1Katonda amanyiddwa mu nsi ya Yuda
erinnya lye kkulu mu Yisirayeli.
2Ekisulo kye kiri mu Yerusaalemu,
abeera ku Lusozi Siyooni.
3Eyo gye yamenyera
obusaale bw'omulabe,
n'engabo wamu n'ebitala,
n'ebyokulwanyisa ebirala.
4Oli waakitiibwa, ayi Katonda,
ng'ova mu nsozi
gye wawangulira abalabe bo.
5Abalwanyi baabwe abazira,
byonna bye baalina binyagiddwa,
kati beebase obutakyassa.
Amaanyi gaabwe
n'obuzira tebyabagasa.
6Bwe wakangisaamu oti,
ayi Katonda wa Yakobo,
embalaasi n'abazeebagala
baagwa eri ne balambaala!
7Naye ggwe oli wa ntiisa!
Aluwa akutambaala
ng'omaze okusunguwala?
8Wamanyisa ensala y'omusango
evudde mu ggulu.
Ensi n'etya n'esirika,
9ng'osituse okulaga bw'ogusaze
okulokola abanyigirizibwa ku nsi.
10Ddala obusungu bw'abantu
bwongera kukuweesa kitiibwa.
Abaliwona entalo balikutendereza
nga bajaguza.
11Mukama Katonda wammwe
mumuwe bye mumusuubizza.
Bonna abamwetoolodde
bamuleetere ebirabo,
oyo agwanira okutiibwa.
12Atoowaza abalangira abakulu,
n'atiisa bakabaka
mu buli ggwanga.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.